1 Samuel 14:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Mwenna abagabe b'eggye, musembere wano, muzuule ani eyakoze ekibi kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'ayogera nti, “Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu; mwetegereze mulabe kibi ki ekikoleddwa olwaleero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba nti: “Musembere wano mmwe mwenna abakulembeze b'abantu mumanye era mulabe ekibi nga bwe kikoleddwa olwaleero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu: mutegeere mulabe ekibi kino bwe kibadde leero.