1 Samuel 14:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima Omukama omununuzi wa Yisirayeli nga mulamu, ne bw'anaaba mutabani wange Yonatani, ajja kuttibwa.” Mu bantu tewali yamunyega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga Mukama alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kiri ku mutabani wange Yonasaani, taaleme kufa.” Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndayira Mukama omulamu alokola Yisirayeli nti: ne bwe kiba nga kyakoleddwa mutabani wange Yonataani, ajja kufa.” Naye ne watabaawo n'omu mu bantu bonna amuddamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kibadde mu Yonasaani mutabani wange, taaleme kufa. Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu.