1 Samuel 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mukutu Yonatani we yayagala okuyita atuuke ku nkambi y'Abafilisitiini waaliwo ebbanga ery'olwazi ku buli luuyi; erinnya ly'ebbanga erimu ery'olwazi nga ye Bozezi, n'ery'eddala nga ye Sene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wakati awayingirirwa, Yonasaani we yali alina okuyita okutuuka ku kigo ky'Abafirisuuti waaliwo amayinja amasongovu eruuyi ne ruuyi; erimu ng'aliyitiibwa Bozezi, n'eddala nga liyitibwa Sene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakati awo awayingirirwa, Yonataani we yalina okuyita okutuuka ku nkambi y'Abafilistiya, waaliwo enjazi ku buli ludda ezaalimu empampagama. Olwazi olumu nga luyitibwa Bozezi, n'olulala nga luyitibwa Sene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo wakati awayitibwa Yonasaani we yali ayagala okufuluma okutuuka mu kigo eky'Abafirisuuti, waaliwo ejjinja essongovu eruuyi n'ejjinja essongovu eruuyi: n'erimu erinnya lyalyo Bozezi, n'eddala erinnya lyalyo Sene.