1 Samuel 14:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba Yisirayeli yenna nti: “Mwenna mudde ku ludda lumu, nange ne mutabani wange Yonatani tusigale ku luuyi luno.” Abantu ne baanukula Sawulo nti: “Kola ky'osiimye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agamba Isiraeri yenna nti, “Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala.” Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Kola nga bw'osiima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mmwe mubeere ku ludda lumu, ate nze ne Yonataani mutabani wange tubeere ku ludda olulala.” Ne bamuddamu nti: “Kola kyonna ky'osiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba Isiraeri yenna nti Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala. Abantu ne bagamba Sawulo nti Kola nga bw'osiima.