1 Samuel 14:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli, lwaki omuweereza wo tomwanukudde leero? Oba nze musobya, oba Yonatani mutabani wange nga y'ataakoze kituufu, Mukama Katonda wa Yisirayeli, wa Wurimu; naye oba ensobi eri na bantu bo Yisirayeli, wa Tummimu.” Akalulu ne kalonda Yonatani ne Sawulo; abantu ne bejjeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’asaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonasaani ne Sawulo, abantu ne bawona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Yisirayeli nti: “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonataani ne Sawulo, abantu ne bawona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo kyeyava agamba Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Laga eby'ensonga. Awo akalulu ne kabagwako Sawulo ne Yonasaani; naye abantu ne bawona.