1 Samuel 14:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Mukube akalulu ku nze ne ku Yonatani, mutabani wange.” Yonatani n'alondebwa
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'ayogera nti, “Kati mukubire nze ne mutabani wange Yonasaani akalulu.” Akalulu ne kagwa ku Yonasaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Mukubire nze ne Yonataani mutabani wange akalulu.” Akalulu ne kakwata Yonataani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Mukubire nze ne Yonasaani mutabani wange. Ne kamugwako Yonasaani.