1 Samuel 14:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Yonatani nti: “Ntegeeza kye wakoze.” Yonatani n'amutegeeza nti: “Nakombye ku mubisi gw'enjuki ogwabadde ku kasongezo k'omuggo gwange; laba kati ŋŋenda kufa!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti, “Mbuulira by'okoze.” Yonasaani n'amugamba nti, “Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba kiŋŋwanidde okufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba Yonataani nti: “Mbuulira kye wakoze.” Yonataani n'amubuulira, n'agamba nti: “Naleze ku mubisi gw'enjuki nga ntooza omusa gw'omuggo gwe nabadde nkutte. Kale nzuuno, ka nfe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti Mbuulira by'okoze. Yonasaani n'amubuulira n'ayogera nti Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba, kiŋŋwanidde okufa.