1 Samuel 14:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonatani afe? Eyanunudde Yisirayeli obwenkana awo? Kikafuuwe! Mazima Omukama nga mulamu, n'oluviiri teruumuve ku mutwe kugwa mu ttaka, kubanga olwa leero kye yakoze, yakikoze na buyambi bwa Katonda.” Abantu ne bawonya batyo Yonatani, n'atattibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kikafuuwe: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonataani awangulidde Yisirayeli olutalo luno olw'amaanyi anaafa? Kikafuuwe! Nga Mukama bw'ali omulamu, tewaabe wadde oluviiri olumu bwe luti olunaava ku mutwe gwe, kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Bwe batyo abantu ne bawonya Yonataani, n'atafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bagamba Sawulo nti Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kiddire eri: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero. Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa.