1 Samuel 14:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo obwakabaka bwe bwe bwamala okunywera ku Yisirayeli, n'alwanyisa abalabe be ku njuyi zonna: Mowabu, Abammoni, Edomu, bakabaka b'e Zoba n'Abafilisitiini. Buli gye yaddanga, ng'ababonereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti; buli gye yakyukiranga yonna n'abawangula n'abayisa bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Yisirayeli n'alwanyisa abalabe be bonna ku buli ludda; n'alwanyisa ab'e Mowaabu, n'Abammoni n'Abeedomu, ne bakabaka ba Zoba, n'Abafilistiya. Buli gye yalaganga, ng'abayisa bubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo bwe yamala okulya obwakabaka bwa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti: awo n'abeeraliikirizanga buli gye yakyukanga yonna.