1 Samuel 14:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Sawulo be bano: Yonatani, Yisuvi ne Maluki-Suwa; amannya g'abawala be ababiri gaali: omuggulanda nga ye Merabu, ate muto we nga ye Mikali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa; n'amannya ga bawalawe ababiri ge gano; omubereberye erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Sawulo baali Yonataani ne Yisuvi ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri ge gano: omuggulanda erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa: n'amannya ga bawala be ababiri gaagano; omubereberye eritmya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali: