1 Samuel 14:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muka Sawulo erinnya lye nga ye Akinowamu, muwala wa Akimaazi; erinnya ly'omuduumizi w'eggye lye nga ye Abuneri, mutabani wa Neri, kitaawe omuto owa Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi w’eggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi; n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muka Sawulo nga ye Ayinowamu, muwala wa Ayimaazi. Omuduumizi w'eggye yali Abuneeri, mutabani wa Neeri, kitaawe omuto owa Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi: n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo.