1 Samuel 14:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde bwa Sawulo, olutalo n'Abafilisitiini lwakalambira; buli musajja ayeesobola oba omuzira nga Sawulo amugatta ku ggye lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okw’amaanyi n’Abafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira n’amuyingiza mu magye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafirisuuti. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafilistiya. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne balwana nnyo nnyini n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Sawulo: awo Sawulo bwe yalabanga omuntu yenna ow'amaanyi oba omuzira yenna, n'amwesenzezanga.