1 Samuel 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwetissi w'ebyokulwanyisa bye n'agamba nti: “Kola kyonna omwoyo gwo kye gwagala. Genda mu maaso, nange ndi naawe nga bw'oyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye n'amugamba nti, “Kola byonna ebiri mu mutima gwo. Genda mu maaso nze ndi wamu naawe, ng'omutima gwo bwe guli n'ogwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye n'amugamba nti: “Kola ekikuli ku mutima. Genda mu maaso, nze ndi wamu naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'amugamba nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kyuka, laba, nze ndi wamu naawe ng'omutima gwo bwe guli.