1 Samuel 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batugamba nti: ‘Musigale awo tubasange awo,’ tujja kusigala awo we tuli, tetujja kwambuka gye bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe banaatugamba nti, ‘Mubeere eyo okutuusa lwe tunajja gye muli;’ kale tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutagenda gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaatugamba nti: ‘Mubeere eyo, okutuusa lwe tunajja gye muli,’ olwo tunaasigala nga tuyimiridde we tuli, ne tutagenda gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe banaatugamba nti Mubeere eyo okutuusa bwe tunajja gye muli; awo tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutayambuka gye bali.