1 Samuel 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Omukama yantuma nze, nkusiige, obeere kabaka w'eggwanga lye Yisirayeli. Kale nno wulira Omukama ky'akugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “ Mukama nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Mukama yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri; kale nno kaakano wulira ebigambo bya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama nze yatuma okukufukako omuzigo okuba kabaka w'abantu be Abayisirayeli. Kale nno kaakano wulira Mukama bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Mukama Yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri: kale nno kaakano wulira eddoboozi ly'ebigambo bya Mukama.