1 Samuel 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli bwe yazuukuka ku makya, n'agenda okusisinkana Sawulo, naye Samweli ne bamubuulira nti: “Sawulo agenze ku Karumeli; eyo yeetereddeyo ekijjukizo, bw'akomyewo, ayise buyisi n'akkirira e Gilugali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'akeera enkya n'agenda okusisinkana ne Sawulo; Samwiri ne bamubuulira nti, “Sawulo bweyatuuka e Kalumeeri neyezimbira ekijjukizo, n'akyuka n'agenda e Girugaali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli yakeera nkya n'agenda okusisinkana Sawulo. Ne bamubuulira nti: “Sawulo yatuuka e Karumeeli era eyo ne yeezimbirayo ekijjukizo, n'akyuka n'ayitawo n'aserengeta e Gilugaali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo enkya; ne bamubuulira Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yeesimbira ekijjukizo, n'akyuka n'ayitamu n'aserengeta e Girugaali.