1 Samuel 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'amugamba nti: “Ate okukaaba kw'endiga okuvuga mu matu gange, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira, biki bino?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'ayogera nti, “Okubejjagala kuno okw'endiga n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira mu matu gange makulu ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n'ente eziŋooŋa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'ayogera nti Okubejjagala kuno okw'endiga nno okuli mu matu gange makulu ki, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira?