1 Samuel 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba nti: “Newandibadde nga bwe weetunuulira wali okyali mwana bwana, tewafuuka mutwe gwa bika bya Yisirayeli? Omukama yakusiiga n'oba kabaka wa Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba nti, “Newakubadde wali wenyooma tewafuuka mukulembeze w'ebika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba nti: “Newaakubadde wali weenyooma, tewafuuka mukulembeze wa bika bya Yisirayeli? Mukama yakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'ayogera nti Newakubadde nga wali mutono mu maaso go ggwe, tewafuuka mutwe gwa bika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: