1 Samuel 15:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'akutuma omulimu ng'agamba nti: ‘Genda, otte Amaleki, abo aboonoonyi; balwanyise okutuusa ng'obasaanyizzaawo ddala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'akutuma omulimu, nga agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala Abamaleki abo abalina ebibi, obalwanyise okutuusa bonna lwe balimalibwawo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakutuma okukola omulimu ng'agamba nti: ‘Genda ozikiririze ddala aboonoonyi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lwe balimalibwawo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akutuma olugendo, n'ayogera nti Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo.