1 Samuel 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye agamba bino. ‘Ŋŋenda kubonereza Amaleki olw'ebyo bye yakola Yisirayeli, bwe yamuteega mu kkubo lwe yali ayambuka ng'ava mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti, ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye bakola Isiraeri, bwe baamuziyiza mu kkubo ne babagana okuyitawo bwe bali bava e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba bw'ati nti: ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli, bwe baabeekiika mu kkubo, ne babagaana okuyitawo nga Abayisirayeli bava e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nekkaanya ebyo Amaleki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo, bwe yalinnya okuva mu Misiri.