1 Samuel 15:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Mu butuufu nawuliriza eddoboozi ly'Omukama. Nagenda Omukama gye yantuma; Agagi kabaka wa Amaleki namuleeta; Amaleki ne mmusaanyizaawo ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'addamu Samwiri nti, “Nagondera eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Eddoboozi lya Mukama naligondera, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka w'Abamaleki, ne nsaanyizaawo ddala Abamaleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba Samwiri nti Okugondera ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda olugendo Mukama lwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki.