1 Samuel 15:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu be baalonze mu byanyagibwa endiga n'ente ebisinga obulungi, ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa, balyoke babitambirire Omukama Katonda wo e Gilugali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga obulungi mw'ebyo ebyali bigenda okuzikirizibwa, biweebweyo okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente ebyasinga obulungi mu ebyo ebyali eby'okuzikiririza ddala, batambirire Mukama Katonda wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweerayo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.