1 Samuel 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba nti: “Omukama asanyukira ebitambiro ebyokye n'ebitone okwenkana bw'asanyukira okugondera eddoboozi ly'Omukama? Kituufu, obuwulize bukira ekitambiro, okutegereza kukira amasavu g'endiga ennume.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samwiri n’amugamba nti, “ Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'ayogera nti, “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa era n'ebitambiro okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Okugonda, ddala kusinga ekitambiro, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba okugonda kusinga ssaaddaaka obulungi n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume.