1 Samuel 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obujeemu, kibi kya kulagulwa; olunkulu luli ng'obubi obuli mu kusinza balubaale. Kubanga wagaana ekiragiro ky'Omukama, naye akubodde ku bwakabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira, era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okujeema kuliŋŋaanga ekibi eky'obulaguzi, n'obukakanyavu buliŋŋaanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obujeemu kye kimu n'ekibi eky'obusamize, n'emputtu kye kimu n'ekibi eky'okusinza ebitali Katonda. Nga bw'ogaanye okukola Mukama ky'akulagidde, Mukama naye akugaanye ku bwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky’obufumu, n’obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.