1 Samuel 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nnyonoonye, kubanga nagaya ekiragiro ky'Omukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti, “Nnayonoona, kubanga nnasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo; kubanga nnatya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nayonoona, kubanga najeemera ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti Nayonoona: kubanga nasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo: kubanga natya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.