1 Samuel 15:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana Omukama kye yayogera; n'Omukama akubodde okuba kabaka wa Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Sijja kuddayo naawe; kubanga wagaana okukola nga Mukama bwe yakulagira, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'addamu nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana okukola Mukama bye yakulagira, era Mukama akugobye ku bwakabaka bwa Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'agamba Sawulo nti Siddeyo naawe: kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.