1 Samuel 15:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, genda olumbe Amaleki osanyizeewo ddala ebibye byonna; tobaako ky'otaliza; wabula tta buli musajja n'omukazi, n'omwana, n'ebbujje, n'ente, endiga, eŋŋamiya, n'endogoyi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente n'endiga, eŋŋamira n'endogoyi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano genda otte Abamaleki, era ozikiririze ddala byonna bye balina. Era tobasaasira, naye otte bonna: abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, era otte ente, n'endiga, n'eŋŋamiya n'endogoyi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi omwana omuwere n’ayonka, ente n’endiga, eŋŋaamira n’endogoyi.