1 Samuel 15:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona; naye mpisa n'ekitiibwa mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Yisirayeli. Tuddeyo ffembi, nsinze Omukama Katonda wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'alyoka ayogera nti, “Nnayonoona, naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, tuddeyo ffembi nsinze Mukama Katonda wo nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona, naye nkwegayiridde nzisaamu ekitiibwa kaakano mu maaso g'abakulembeze b'abantu bange, ne mu maaso ga Yisirayeli, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka ayogera nti Nayonoona: naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama Katonda wo.