1 Samuel 15:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba nti: “Mundeetere Agagi, kabaka wa Amaleki.” Agagi n'ajja gy'ali n'oluggumuggumu naye muli ng'alowooza nti: “Mazima obubalagaze bw'okufa buyise.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.” Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba nti, “Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samwiri ng'asanyuka. Agagi n'ayogera nti, “Mazima obubalagaze obw'okufa buyise.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'agamba nti: “Mundeetere wano Agagi Kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samweli ng'asanyuka, ng'alowooza nti obubalagaze obw'okufa buyise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'alyoka ayogera nti Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki. Agagi n'ajja gy'ali ng'akumba. Agagi n'ayogera nti Mazima obubalagaze bw'okufa buyise.