1 Samuel 15:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyamalako abakazi abaana, ne nnyoko mu bakazi banne bw'anaasigala nga talina baana!” Samweli n'atemaatema Agagi ebifi mu maaso g'Omukama mu Gilugali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samwiri n’ayogera nti, “Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana, ne nnyoko talibeera na mwana.” Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'agamba Agagi nti, “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Samweli n'atemaatema Agagi mu maaso ga Mukama e Gilugaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'ayogera nti Ng'ekitala kyo bwe kyafuulanga abakazi obutaba na baana, bw'atyo nnyoko bw'aliba talina baana mu bakazi. Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali.