1 Samuel 15:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli teyaddayo kulaba ku Sawulo okutuusa okufa kwe; kyokka Samweli yakaabiranga Sawulo, naye Omukama n'anyolwa okuba nga yalonda Sawulo okuba kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. Mukama n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri okutuusa lwe yafa n'ataddayo kulaba Sawulo; kubanga Samwiri yanaakuwalira Sawulo. Ne Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli ennaku zonna ez'obulamu bwe, teyaddayo kulaba Sawulo, wabula yanakuwala nnyo olwa Sawulo oyo, kubanga Mukama yennyamira olw'okufuula Sawulo kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'atajja nate okulaba Sawulo okutuusa ku lunaku kwe yafiira; kubanga Samwiri yanakuwalira Sawulo: Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri.