1 Samuel 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Abakeni nti: “Mugende, muve awali Abaamaleki, nneme kubazikiririza wamu nabo, kubanga mmwe mwagirira ekisa Abayisirayeli bonna lwe baali bayambuka nga bava mu Misiri.” Abakeni ne bava awali Amaleki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba Abakeeni nti, “Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo; kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba Abakeeni nti: “Mugende, muveewo, muve mu Bamaleki, nneme okubazikiriza awamu nabo, kubanga mwayamba Abayisirayeli bonna, bwe baali nga bava mu Misiri.” Bwe batyo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba Abakeeni nti Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo: kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri. Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.