1 Samuel 15:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawamba Agagi kabaka w'Amaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n'abatta n'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'amutwala nga mulamu, n'azikiririza ddala abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala.