1 Samuel 15:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'eggye baataliza Agagi n'endiga, ente, obuyana obusavuwaze, n'obuliga ebisinga obulungi, kwe kugamba buli kirungi kyonna. Ebirungi tebaayagala kubizikiriza, naye buli ekinyoomebwa n'ekinafu baabisaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ennyana ezassava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala; naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sawulo n'abantu be ne basaasira Agagi, era ne bataliza endiga n'ente ebyasinga obulungi, n'ennyana ezassava, n'abaana b'endiga, na byonna ebyali ebirungi, ne bagaana okubizikiririza ddala, naye ebinyoomebwa n'ebitali bya muwendo, ne babizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ebya ssava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala: naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.