1 Samuel 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Samweli nti: “Onootuusa wa okukaabira Sawulo, ate nga nze mmubodde ku bwakabaka bwa Yisirayeli? Jjuza ejjembe lyo omuzigo, ogende, nkusindise ewa Yesse ow'e Beteleemu; omu ku batabani be mmwerondedde abeere kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, ŋŋenda kukutuma eri Yese Omubesirekemu, kubanga nneefunidde kabaka mu batabani be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Samweli nti: “Olituusa wa okunakuwala olwa Sawulo, nga nze mmaze okumugoba ku bwa kabaka bwa Yisirayeli? Jjuza ejjembe lyo omuzigo, ojje nkutume ewa Yesse Omubetilehemu, kubanga nneesimiidde omu ku batabani be ne mmulonda okuba kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be.