1 Samuel 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yesse n'ayisaawo batabani be omusanvu mu maaso ga Samweli, Samweli n'agamba Yesse nti: “Omukama talonze mu bano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yese n'ayisa batabani be musanvu (7) mu maaso ga Samwiri. Samwiri n'agamba Yese nti, “Mukama talonze mu abo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesse n'ayisa batabani be musanvu mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba Yesse nti: “Mukama talonze abo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yese n'ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n'agamba Yese nti Mukama talonze abo.