1 Samuel 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'abuuza Yesse nti: “Bano be batabani bo bokka?” N'ayanukula nti: “Wakyasigaddeyo omuggalanda; alunda ndiga.” Samweli n'agamba Yesse nti: “Mutumye; tetujja kutuula ku lujjuliro ng'oyo tannatuuka wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'abuuza Yese nti, “Batabani bo bonna we bali wano?” Yese n'addamu nti, “Wakyasigaddeyo asembayo obuto, alunda ndiga.” Samwiri n'agamba Yese nti, “Tumya bamukime, tetujja kutuula okutuusa nga azze wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba Yesse nti: “Batabani bo bonna weebali wano?” Yesse n'agamba nti: “Ekyasigaddeyo asembayo obuto, ali eyo alunda ndiga.” Samweli n'amugamba nti: “Tuma bamuleete. Tetujja kutuula okutuusa ng'azze wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N'ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n'agamba Yese nti Tuma bamukime: kubanga tetuutuule okutuusa lw'anajja eno.