1 Samuel 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amutumya, n'amuleeta. Yali mumyufu, wa maaso malungi, ng'asanyusa okulaba. Omukama n'agamba nti: “Situka, omusiige; ye oyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atumya n'amuyingiza. Yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'agamba nti, “Golokoka omufukeko amafuta; kubanga ye wuuyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesse n'amutumya, n'amuyingiza. Yali mumyufu, nga wa maaso malungi, era nga mulungi mu ndabika ye. Mukama n'agamba Samweli nti: “Situka omufukeko omuzigo, kubanga ye wuuyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma n'amuyingiza. Era yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo.