1 Samuel 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'addira ejjembe ly'omuzigo n'amusiiga mu maaso ga baganda be. Okuva ku olwo omwoyo gw'Omukama ne gujja ku Dawudi. Samweli n'asituka n'agenda mu Rama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'asituka n'addayo e Laama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'alyoka addira ejjembe ery'omuzigo, n'amufukako omuzigo ng'ali mu baganda be wakati. Mwoyo wa Mukama n'akka ku Dawudi n'amaanyi, era Mwoyo oyo n'abeeranga naye okuva ku lunaku olwo. Awo Samweli n'asituka n'agenda e Raama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'agolokoka n'agenda e Laama.