1 Samuel 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku baweereza n'agamba nti: “Nalaba mutabani wa Yesse Omubeteleemu; amanyi okusuna ennanga. Ate muzira, musajja mutabaazi, ayogeza magezi, musajja afaanana bulungi, n'Omukama ali naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, omusajja omulwanyi ow'amaanyi era omuzira, omutegeevu mu kwogera, omuntu omulungi era ne Mukama ali wamu naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bavubuka n'addamu ng'agamba nti: “Nze nalabayo mutabani wa Yesse Omubetilehemu, omukugu mu kukuba, ow'amaanyi era omulwanyi omuzira, omwogezi omulungi, ng'era alabika bulungi, nga ne Mukama ali wamu naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti Laba, nalaba mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, era omusajja ow'amaanyi omuzira, era omulwanyi, era omutegeevu okwogera, era omuntu omulungi, ne Mukama ali naye.