1 Samuel 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'atuma ababaka ewa Yesse, n'agamba nti: “Nsindikira Dawudi, mutabani wo alunda endiga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'amugamba nti, “Mpeereza Dawudi mutabani wo alunda endiga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo kyeyava atumira Yesse ababaka n'agamba nti: “Mpeereza Dawudi mutabani wo, alunda endiga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'ayogera nti Mpeereza Dawudi mutabani wo ali n'endiga.