1 Samuel 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Samweli n'agamba nti: “Nnaagenda ntya? Sawulo ajja kuwulira anzite.” Omukama n'agamba nti: “Kwata ennyana y'ente ogende nayo; ojja kugamba nti: ‘Nzize kutambirira Mukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'ayogera nti, “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita.” Mukama n'amugamba nti, “ Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti, ‘Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba nti: “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'anaakiwulira ajja kunzita!” Mukama n'amugamba nti: “Twala ennyana y'ente, ogende nayo, ogambe nti: ‘Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita. Mukama n'ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.