1 Samuel 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yesse n'addira endogoyi eyeetisse emigaati n'endyanga y'evviini, n'akabuzi, n'abikwasa mutabani we Dawudi ng'abiweerezza Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abikwasa Dawudi mutabani we, abitwalire Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesse n'addira endogoyi, n'agitikka emigaati, n'omwana gw'embuzi, n'ensawo ey'eddiba erimu omwenge ogw'emizabbibu, n'abikwasa mutabani we Dawudi, abitwalire Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ekita eky'omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abiweereza Sawulo mu mukono gwa Dawudi mutabani we.