1 Samuel 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ajja eri Sawulo, n'ayimirira mu maaso ge; Sawulo n'ayagala nnyo Dawudi, n'afuuka mwetissi wa byakulwanyisa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ajja eri Saulo n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo era nnamulonda n'okusitulanga eby'okulwanyisa bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'ajja ewa Sawulo, n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo, era n'amulonda okukwatanga ebyokulwanyisa bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n’ajja eri Sawulo n'ayimirira mu maaso ge: n'amwagala nnyo; n'atwalanga ebyokulwanyisa bye: