1 Samuel 16:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwoyo gwa Katonda lwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi ng'akwata ennanga ng'asuna, olwo Sawulo ng'akkakkana, omwoyo omubi nga gumuvaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwajjanga ku Sawulo, Dawudi naakubanga ennanga; Olwo Sawulo omuzimu omubi ne gumuvaako nakkakkana n'abeera bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda buli lwe gwatawaanyanga Sawulo, nga Dawudi akwata ennanga ng'akuba, olwo omwoyo omubi nga guva ku Sawulo, n'akkakkana, n'aba bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi n'addiranga ennanga ye n'akuba n’engalo ze: awo Sawulo n'aweeranga n'awona, omuzimu omubi ne gumuvaako.