1 Samuel 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kuyita Yesse awali ekitambiro; nze nzija kukulaga ky'onookola. Ojja kunsiigira omuzigo yenna gwe nnaaba nkulaze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyite Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola; era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo oyite Yesse ku kitambiro, era awo ndikubuulira eky'okukola. Ofuke omuzigo ku oyo, gwe nnaakugamba okugufukako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.