1 Samuel 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'akola ng'Omukama bwe yamugamba; yagenda e Beteleemu. Abakadde mu kibuga ne beekanga; bwe baamusisinkana ne bamubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yamugamba n'agenda e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne bamubuuza nti, “Ozze mirembe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'akola ekyo Mukama kye yagamba, n'ajja e Betilehemu. Abakulu b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana, ne bagamba nti: “Ozze lwa mirembe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yayogera n'ajja e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne boogera nti Ozze mirembe?