1 Samuel 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Lwa mirembe; nzize kutambirira Mukama. Mwetukuze, mujje nange tutambire.” N'atukuza Yesse ne batabani be, n'abayita ku kitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'addamu nti, “Mirembe; nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama, mwetukuze tugende ffenna ku ssaddaaka.” N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Lwa Mirembe. Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama. Mwetukuze mujje nange ku kitambiro.” N'atukuza Yesse wamu ne batabani be, n'abayita ku kitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mirembe: nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama: mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka.