1 Samuel 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bajja, n'alaba Eliyabu, n'alowooza nti: “Tewali kubuusabuusa, omusiige w'Omukama ali mu maaso g'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti, “Mazima ono Mukama gw'alonze okufukako amafuta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesse ne batabani be bwe baatuuka, Samweli n'atunuulira Eliyaabu, n'agamba nti: “Ono ayimiridde mu maaso ga Mukama, ddala y'oyo Mukama gw'anaafukako omuzigo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti Mazima Mukama gw'afukako amafuta ali mu maaso ge.