1 Samuel 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama n'agamba Samweli nti: “Totunuulira ndabika ye, wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze, kubanga siraba ng'omuntu bw'alaba. Omuntu alaba ebyo eby'okungulu, naye Omukama atunuulira mutima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'agamba Samwiri nti, “Totunuulira ndabika ye newakubadde obuwanvu bwe; kubanga mugaanyi, kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama n'agamba Samweli nti: “Totunuulira ndabika ye, wadde obuwanvu bwe, kubanga oyo mmugaanyi. Nze Mukama okulaba okwange tekuli nga kwa bantu. Abantu batunuulira bya kungulu, naye nze ntunuulira kiri mu mutima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama n'agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala Ye bw'eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.